Imam Bukhari : 621
حَدَّثَنَا قُتَيْبَةُ قَالَ حَدَّثَنَا إِسْمَاعِيلُ بْنُ جَعْفَرٍ عَنْ حُمَيْدٍ قَالَ سُئِلَ أَنَسُ بْنُ مَالِكٍهَلْ اتَّخَذَ رَسُولُ اللَّهِ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ خَاتَمًا فَقَالَ نَعَمْ أَخَّرَ لَيْلَةً صَلَاةَ الْعِشَاءِ إِلَى شَطْرِ اللَّيْلِ ثُمَّ أَقْبَلَ عَلَيْنَا بِوَجْهِهِ بَعْدَ مَا صَلَّى فَقَالَ صَلَّى النَّاسُ وَرَقَدُوا وَلَمْ تَزَالُوا فِي صَلَاةٍ مُنْذُ انْتَظَرْتُمُوهَا قَالَ فَكَأَنِّي أَنْظُرُ إِلَى وَبِيصِ خَاتَمِهِ
Kitubuuliddwa [Qutaibah] yagamba, kitugambye [Isma’il bin Ja’far] okuva ku [Humaid] yagamba nti, ‘ [Anas bin Malik] yabuuzibwa nti, ‘Omubaka wa Allah yali ayambadde empeta? ’ Awo n’addamu nti, ‘Yee. Lumu yakomekkereza esswala ya Isha okutuusa mu ttumbi, olwo eswala bwe yamala n’atutunuulira n’agamba nti: ‘Abantu bamaze okusaala era beebase, so nga bulijjo mujja kuba mubala essaala zammwe nga mulindirira okutuukiriza’. Anas bin Malik yagamba nti, ‘Mazima ddala mu kiseera ekyo nnalaba okumasamasa kw’empeta ye’.