Imam Malik : 1296
حَدَّثَنِي مَالِك عَنْ يَحْيَى بْنِ سَعِيدٍ عَنْ سُلَيْمَانَ بْنِ يَسَارٍ عَنْ أَبِي وَاقِدٍ اللَّيْثِيِّ أَنَّ عُمَرَ بْنَ الْخَطَّابِأَتَاهُ رَجُلٌ وَهُوَ بِالشَّامِ فَذَكَرَ لَهُ أَنَّهُ وَجَدَ مَعَ امْرَأَتِهِ رَجُلًا فَبَعَثَ عُمَرُ بْنُ الْخَطَّابِ أَبَا وَاقِدٍ اللَّيْثِيَّ إِلَى امْرَأَتِهِ يَسْأَلُهَا عَنْ ذَلِكَ فَأَتَاهَا وَعِنْدَهَا نِسْوَةٌ حَوْلَهَا فَذَكَرَ لَهَا الَّذِي قَالَ زَوْجُهَا لِعُمَرَ بْنِ الْخَطَّابِ وَأَخْبَرَهَا أَنَّهَا لَا تُؤْخَذُ بِقَوْلِهِ وَجَعَلَ يُلَقِّنُهَا أَشْبَاهَ ذَلِكَ لِتَنْزِعَ فَأَبَتْ أَنْ تَنْزِعَ وَتَمَّتْ عَلَى الْاعْتِرَافِ فَأَمَرَ بِهَا عُمَرُ فَرُجِمَتْ
Malik yannyumiza okuva ku Yahya ibn Sa’id okuva ewa Sulaiman ibn Yasar okuva ewa Abu Waqid Al Laythsi nti waliwo omusajja eyajja ewa Umar ibn Khattab nga ali mu Syria. Omusajja yamutegeeza nga bwe yasanze mukazi we n’omusajja omulala. Olwo Umar ibn Khattab n’atuma Abu Waqid Al Laythsi eri mukyala w’omusajja oyo amubuuze ku nsonga eno. Abu Waqid olwo n’asisinkana omukazi ono ng’ali n’abakazi abamu. Awo Abu Waqid n’anyumya byonna bba bye yali ayogedde Umar ibn Khattab, era nti tajja kubonerezebwa bigambo bya bba byokka. Abu Waqid olwo n’alina kye yayogera eri omukazi okwewozaako, kyokka n’agaana. Mu butuufu, yasembayo okwatula ebikolwa bye. Olwo Umar n’alagira bamukube amayinja, era n’akubwa amayinja.